Ekyama
Twasizza ekyama
Nakufuna ng'alonze akavangata
Bintu bya mutima nze saamanya, eh!
Nagezaako dda byalema
Nga njagala mmanye
(Tebyagala), kubyanika
Omukwano kawoowo
Maama k'okole otya!
Ne bw'osiba evvumbe
Bivaayo ne byeyasa
Nze nafumba luvuutu (saamanya)
Ebijja mu maaso (saamanya)
Nti aliba ani okulujjula?
Laba wuuno eno
Ebyali eby'ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Biri bye twakeeka
Ekyama, twasizza ekyama
By'ebifuuse ensonga
Ekyama, twasizza ekyama
Ebyali eby'ekyama aah
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Omukwano mujoozi k'okole otya togwewala
Gwankwasa lumu ng'enjoka bwe zeeyisa
Nz'eyali yeemanyi mu laavu ssigonzebwa, ha
Mpolampola omutima nga gubbibwa
Bwe nakuuma ebyama
Ne bifuuka ebyama
Laavu ojooga
Laba bw'onkuba engwala (ayi)
Baŋamba kawoowo
Mukwano k'okole otya!
Nga nsibye evvumbe
Guvuddeyo ne byeyasa
Ebyali eby'ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Biri bye twakeeka
Ekyama, twasizza ekyama
By'ebifuuse ensonga
Ekyama, twasizza ekyama
Ebyali eby'ekyama aah
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Omukwano gwaffe
Y'empagi yaffe
Kwe twesibye, kwe twekuumidde
Olwazi olumpaniridde eh
Ssi masaali nti neeyisa
Ekyejo y'akinkola
Ke kaseera nze neeyise, eh
Mukuuma nga vviivi (meeme)
Ampunyira nga dollar (dollar)
Nakigambye ne maama
Nze n'ankuba akaama
Yaŋambye kawoowo
Laavu k'okole otya!
Ne bw'osiba evvumbe
Bivaayo ne byeyasa
Ebyali eby'ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Biri bye twakeeka
Ekyama, twasizza ekyama
By'ebifuuse ensonga
Ekyama, twasizza ekyama
Ebyali eby'ekyama aah
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
LYRICS PUBLISHED BY: PROMOTER MUSA