Tubadde ba mikwano okumala ebbanga ddene nnyo
Nga era buli kyantuma nkikola, nga sijeema
Naye olwamunyizizaako nakulabidde ejjano
Kino kyansuuseko, yangambye
Siri soma, siri malako
Ndibeera mwavu oba omugumba, nti ate nakkula bubi
Kwekukaaba, gyenasisinkaanye Yesu
Nampambatira nga bwangamba nti ndiwuwe eh
Natondebwa mukifaananyikye
Kati oli nebwaayogeraki
Tayinza kukyuusa nteekateeka
Mukama gyalina gyendi kimanye
Natondebwa mukifaananyikye
Kati oli nebwaayogeraki
Yesu alinange talindeeka, talingoba, talinjabulira
Naawe gy'oli manyi embeera ekukuuba obwaama
Naye togwaamu ssubi luliba lumu on'owa bujuulizi
Bw'otunuulira gy'ovudde newotuuse
Abadde Mukama abadde Mukama n'olwekyo
Bwa'aba kuluuyilwo ani aluleeta
Bwa'aba kuluuyilwo omulabeewo y'ani
Bwa'aba kuluuyilwo ani akwesimbamu
Yesu ali kuluyilwo mukwano mwekwaate
Watondebwa mukifaananyikye
Kati oli nebwaayogeraki
Tayinza kukyuusa nteekateeka
Mukama gyalina gyooli kimanye
Watondebwa mukifaananyikye
Kati oli nebwaayogeraki
Yesu alinawe talikuleeka, talikugoba, talikwabulira
Natondebwa mukifaananyikye
Kati oli nebwaayogeraki
Tayinza kukyuusa nteekateeka
Mukama gyalina gyendi kimanye
Natondebwa mukifaananyikye
Kati oli nebwaayogeraki
Yesu alinange talindeeka, talingoba, talinjabulira