INTRO:
Zheaa, Whoo
Once again,
Whoo, zheoo,booo
(Birgi Beats)
Genius Omuzira, whoo
King Jemcee (Khronos)
Mmmhh
VERSE ONE:
Omukyala gwe njogera ko ye Lydia Nabawanuka
N'abawanuka e Bule n'e Bweya batenda ye kulungiwa
Ngiwa tabbiri zange gy'ali naye tandiiko
Ndi ko buzibu ki Lydia okuŋŋaana ki ondabya nnaku?
Nakusindikira obuwojjolo bw'omukwano wazza njuki
Nju ki mw'osula gwe atamanyi nti nkufa?
Nkufaananya Malaika etuula okumpi ne Mukama
Mu kaama Katonda musindirira essaala
Essala lye nina okulya ofuuke mufumbi
Mu ffumbiro ly'eka twekube love eri dear
Lydia erinnya lyo linnyumira okwogera
Get out of words by'owulira bankonjera
Njera akayumba nga nsuubira gwe kukyala
Ku kyalo abatuuze ne mbasudiya nti nkuleeta
Letter ne nkuwandiikira ate n'oyuza nga
Oyuuza nga lwaki banno nga bayina love yo?
CHORUS:
Nze njagala Lydia
Lydia neetaaga Lydia (Mpulira nkwagala)
Omwoyo gunsula eri Lydia
Mpulira nga neegomba Jazmine
Nze njagala Lydia
Genius neegomba Lydia (Mpulira nkwagala)
Omwoyo gunsula eri Lydia
Jazmine the one and only
VERSE TWO:
Ebikumba ebisalawo oli munyiikivu mu kubigula
Mu kubigula akabina gwe asinga oli number emu
Nsaba mbe mu mw'abo b'oyita ab'okulusegere
Seggereeti ssinywa togamba nti y'ankubye honey
Ani yakugamba mbu Genius omuzira?
Nga wakati wo nange tewali wo kya muzizo!
Mu zi zone gye nsula ssiri criminal
Minoko gye bannonyako abo abampaayira
Mu b'olumya nzigyamu nga ssapatu nkube kumpi
Nkube ku mpi abo abasumbuyi abakunyiiza
Abakkunyiza engoye z'oyambala nabo nsasule
Nsule ko mu kafuba ko nga obuleega bw'oyambala
Bw'oyambala eno baby onsabbalaza bitenkanika
Enkanika y'omutima gwange emu gwe kunjagala
Ku njaga love yo bwe ngyigatta ko okwo kuba kulaluka
Luka olutindo wakati w'omutima gwo n'ogwange
CHORUS:
Nze njagala Lydia
Lydia neetaaga Lydia (Mpulira nkwagala)
Omwoyo gunsula eri Lydia
Mpulira nga neegomba Jazmine
Nze njagala Lydia
Genius neegomba Lydia (Mpulira nkwagala)
Omwoyo gunsula eri Lydia
Jazmine the one and only
VERSE THREE:
Akubuulira okulumya nga ate tokuba ye munno
Mu nnongoosereza z'oyina okkola sookera kw'eyo
Akweyogereza ko yenna omugobe bw'ataba nze
Nze kale nnyumirwa ka smile ko yadde kalimu eddibu
Buli ka competitor bwe tuvuganya gy'oli ako kaboole
Tobwesembereza dear buwunya obwo ne kaboole
Ka boolese ebirungi gy'oli okkunnemya tokkiriza
Kirizza magoba ki nga bakututte ne bakusuula wo?
LJ, nga olimu ebintu byange
You and me tukumbe oli mulungi wange
Dear ommala wo ngenda kugwa mpanirira
I love you bae mu bakyala bonna wankolera
Ani yakugamba mbu Genius omuzira?
Nga wakati wo nange tewali wo kya muzizo!
Lydia erinnya lyo linnyumira okwogera
Walungiwa ne biggwayo onyuma ne mu video zo
CHORUS:
Nze njagala Lydia
Lydia neetaaga Lydia
Omwoyo gunsula eri Lydia
Mpulira nga neegomba Jazmine
Nze njagala Lydia
Genius neegomba Lydia
Omwoyo gunsula eri Lydia
Jazmine the one and only
[Thanks to geniusomuzira for adding these lyrics]